TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Nnyina wa Salah amulabudde okugwa abakyala mu bifuba

Nnyina wa Salah amulabudde okugwa abakyala mu bifuba

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2019

Salah ye yalya eky'obuteebi bwa sizoni bwe yateeba ggoolo 32.

Salaa 703x422

Salah omuteebi wa Liverpool.

NNYINA wa ssita wa Liverpool, Mohamed Salah alabudde mutabani we ku ky’okugenda ng’agwa mu bifuba by’abawala ssaako okubeemanyiiza nti kijja kumuttira amaka.

Salah, ataazannyidde Misiri bwe baabadde balemagana 1-1 mu gusembayo mu z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika ku Lwomukaaga, yatadde ekifaananyi kye ng’aguddde mu kifuba ky’omuwala ku twitter, olwo ne kitandika okusaasaana.

 alah ngagwa mu kifuba kyomuwala Salah ng'agwa mu kifuba ky'omuwala.

 

Nnyina wa Salah olwakirabye n’amulumba n’amugamba nti, “Mwana wange weerabidde nti oli mufumbo? Lwaki oyagala okumenya mukyalawo omutima!”

Salah yeewozezzaako nti, “Maama tewali kiriwo n’omuwala ono era toba na kutya.”

Wabula nnyina wa Salah mu kwanukula, yagambye mutabani we nti ajjukire nti Musiraamu era alina okugondera amateeka gaabwo. Salah yawasa mukyala we Magi mu 2013.

Salah y’omu ku bazannyi abasinze okuzannyira Liverpool emipiira emingi sizoni eno (40) era ennaku zino tali ku ffoomu lwa bukoowu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.