LIVERPOOL ekyaza Spurs enkya ku Ssande mu Premier, mu mupiira gw’erina okuwangula wabula ssita waayo Naby Keita era alekeddwa bbali ku lukalala lw’abazannyi olukoleddwa olw’abagenda okuguzannya.
Wiiki ewedde, ensi ez’enjawulo gye zaabeeredde nga zittunka mu mpaka ez’enjawulo, ye Keita teyazannyidde Guinea gy’asibuka olw’obuvune. Wadde nga mu Liverpool gy’azannyira ogw’ensimbi yabadde azzeemu okutendekebwa, ye Jurgen Klopp akyamulese bbali okumuzannyisa.
Enkya, bazannya Spurs era buli omu yandibadde asuubira nti y’omu ku bazannyi abandyesigamiziddwaako singa Liverpool eba yaakuwangula mupiira. Abazannyi abasuubirwa okugutandika enkya nga bazannya Spurs n’abo abanaabeera ku katebe kuliko; Alisson, Alexander-Arnold, Van Dijk, Matip, Robertson, Fabinho, Wijnaldum, Milner, Mane, Salah, Firmino, Mignolet, Lovren, Moreno, Henderson, Lallana, Shaqiri, Sturridge, Origi