TOP

Eza Big League zirwanira bifo

By Gerald Kikulwe

Added 3rd April 2019

OLUVANNYUMA lw’emipiira 16 nga ttiimu ya Entebbe FC esabiriza w’ekyaliza mu Big League, FUFA emaze ddaaki n’ebakkiriza okukozesa ekisaawe ky’e Bugonga kye baali bawandiisizza ku ntandikwa ya sizoni.

Ivankiweewaowawakisogiantswakatingattunkanessandemukiibikuddyonerashidmatovukukkonoabentebbefc2 703x422

Lwakuna mu Big League

UPDF FC – Wakiso Giants,Luwero

Kira United FC – Doves FC, Namboole

Kiboga Young FC – Ntinda United FC, Kiboga

Bumate United FC – Kireka United FC,Bundibuggyo

Entebbe FC – JMC Hippos,Bugonga

Doves All Stars FC – Amuka Bright stars, Arua

Enkya (Lwakuna) Entebbe FC ekyaza JMC Hippos n’essanyu lingi olw’ekisaawe ky’awaka okukkirizibwa bbo kye beekwasa nti okukyalinga e Wankuluku kibadde kibakosa nnyo nga y’emu ku nsonga lwaki basulira kusalwako olw’ensonga babadde tebafuna budde butendekerwa mu kisaawe kino olwo ne batuuka okukyalizaamu kyokka nga nabo bagenyi ku kisaawe.

Aisha Nalule akulira empaka mu FUFA akakasizza omupiira guno okuzannyirwa e Bugonga oluvannyuma lwa bannyini Entebbe FC okukituukanya n’omutindo ogwetaagisa mu Big League.

Entebbe esigazza emipiira ena gyokka sizoni eno,awaka ebiri ne kubugenyi ebiri, wabula omutendesi James Odoch mugumu nti agenda kuwangula egy’awaka ng’atandikira ku JMC,olw’anoonye waakiri obonero bubiri ku bugenyi.

Ensiike eyasooka yaggwa 0-0 e Kakindu wabula ate Maneja wa JMC Hippos Faisal Muhammed naye alwanyisa butasalwako era akakasizza nga bwe yataddewo obukadde busatu eri abasambi ku buli wiini mw’egyo ena egisigaddeyo,era nti batandika na Entebbe FC.

Entebbe eri mu kifo kya 9 n’obubonero(15) ate JMC (17) mu kifo ekyo 7.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...