TOP

FUFA bagikwasiza bbaasi ya Cranes kapyata

By Stephen Mayamba

Added 3rd April 2019

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni akwasizza FUFA bbaasi ya Cranes kapyata eyabasuubizibwa Pulezidenti Museveni ku ntandikwa ya 2018 n'abakuutira okwongeramu amaanyi okutuusa nga Uganda efuuse nnantameggwa.

Bbaasiyacranes05 703x422

Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Museveni (wakati mu galubindi) ngali n'abakungu ba minisitule, ab'akakiikoakaddukanya emizannyo aka NCS n'abavudde mu FUFA ku mukolo kweyabakwasiriza bbaasi ya Uganda Cranes empya mu maka g'obwapulezidenti e Nakasero ku Lwokubiri nga April 2. (STEPHEN MAYAMBA)

Bya STEPHEN MAYAMBA

Minisita bino yabyogeredde ku mukolo ogwabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero ku Lwokubiri akawungeezi.

Ebisumuluzo bya bbaasi empya amatiriboona byakwasiddwa Justus Mugisha omumyuka asooka owa pulezidenti wa FUFA eyasiimye nnyo obuyambi bwe bafuna okuva mu gavumenti wabula nasaba minisita nti ensimbi ze basuubizibwa okukola ku ntegeka za ttiimu okwetegekera eza AFCON 2019 zibaweebwe mangu kibayambe okwetegeka obulungi ate mu budde.

Omukolo era gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuva mu misitule y’ebyemizannyo omwabadde bakaminsona ab’enajwulo nga bakulembeddwa minisita omubeezi ow’emizannyo Charles Bakkabulindi, abakungu ba National Council of Sports (NCS) abakulembeddwa ssentebe w’akakiiko Bosco Onyik n’akolanga ssaabawandiisi Bernard Ogwel.

Okusinziira ku NCS bbaasi eno ekika kya King Long nnamba UBE 978V yaguliddwa obukadde 580 endala obukadde 12 ne bugenda ku kugitonatona.

Omumyuka wa Cranes Hassan Wasswa ye yakiiikiridde abazannyi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...