TOP
  • Home
  • Rally
  • Lwakataka alabudde banne ku z'e Masaka

Lwakataka alabudde banne ku z'e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2019

Kafulu wa mmotoka, Ponsiano Lwakataka alabudde nga bw'agenda okuliisa banne enfuufu e Masaka

Lwakatakaweb 703x422

Abawagizi ba Lwakataka nga beebunguludde mmotoka ye

Bya GERALD KIKULWE

KAFULU wa mmotoka, Ponsiano Lwakataka yeewera kuliisa abeeyita abanene mu muzannyo guno, enfuufu bwe banaaba basisinkanye mu za 2019 Tarvan Kick SMC Masaka Challenge Rally.

Omwaka oguwedde Lwakataka tegwamutambulira bulungi oluvannyuma lwa mmotoka gye yalina okufiira e Mbarara n’atamalako, ate bwe yeetaba mu z’e Fortportal era n’efiira wakati mu lugendo.

Wabula oluvannyuma lw’okuyingizaawo ekyuma  ey’ekika kya  Subaru N12B, Lwakataka aweze nga bwagenda okumegga abanene okuli Ronald Ssebuguzi ne Hassan Ali, abakulembedde engule y’eggwanga eya NRC.

 onsiano wakataka Ponsiano Lwakataka

 

“Sigenda kukkiriza basserwajjookwota okumpangulira ku butaka. Zino z’empaka ze nnina okukozesa okusitula obubonero bwange nsobole okuyingira mu lwokaano lw’abo abavuganya ku ngule y’omwaka guno,” Lwakataka bwe yaweze.

Zino z’empaka ez’omulundi ogwokusatu ku kalenda ya mmotoka, era zaakubeerawo ku wiikendi ya April 12-14 e  Masaka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...