TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Crested Cranes erinze Ethiopia mu gya Olympics

Crested Cranes erinze Ethiopia mu gya Olympics

By Stephen Mayamba

Added 4th April 2019

Crested Cranes, ttiimu y'aggwanga ey'omupiira ey'abakazi enoonya buwanguzi ku Ethiopia etangaaze emikisa gy'okuzannya egya Olympics mu Japan omwaka ogujja

Crestedcranesweb 703x422

Ttiimu ya Crested Cranes eyazannye oluzannya olusooka mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia

Lwamukaaga)

Uganda - Ethiopia, 10:00

CRESTED Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, ettunka ne Ethiopia olwaleero (Lwamukaaga) nga yeetaaga buwanguzi, esobole okweyongerayo mu luzannya oluddako mu z’okusunsulamu abalizannya Olympics.

Mu gw'oluzannya olusooka ku Lwokusatu, Uganda yakubiddwa ggoolo 3-2 mu kibuga Addis Ababa, nga kati yeetaaga kuwangula ne ggoolo 1-0 okweyongerayo.

Omwaka oguwedde, mu z’okusunsulamu eza Afrika (AWCON 2018), Uganda yeesanga mu mbeera y'emu nga yeetaaga okuwangula Kenya 1-0 waakiri bagende mu peneti kuba mu gwasooka baali bawanguddwa 1-0. Baagwa maliri (0-0), Uganda n'ewanduka.

Oluvannyuma lw'omupiira gw'oku Lwokusatu, Crested Cranes yalinnyiddewo ennyonyi era mu ssaawa mbale yabadde etuuse okutandika okwetegekera ogwokudding’ana e Lugogo.

Farida Bulega, atendeka Crested Cranes, yagambye nti akkiririza mu busobozi bwa ttiimu ye nti esobola okumegga Ethiopia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte