TOP

Man City eneeyita ku kigezo kya Spurs?

By Kato Kawuma

Added 8th April 2019

Pep Guardiola atendeka Man City yawangula Capital One Cup ate yeesozze fayinolo ya FA Cup nga ne mu Premier ali mu kyakubiri.

2018mancityvhoffenheim1 703x422

Ttiimu ya Man City eyazannya ne Hoffenheim mu Champions League.

PEP Guardiola, atendeka Man City ayagala kuyingira byafaayo ng’omutendesi asoose okuwangula ebikopo 4 eby’omuzinzi mu sizoni emu.

Yawangula League Cup (Carabao Cup), baatuuse ku fayinolo ya FA Cup, avuganya ne Liverpool ku Premier ate enkya battunka ne Spurs ku ‘quarter’ ya Champions League.
Guardiola 48, muwanguzi wa bikopo.

Mu Barcelona, yatwala 14 mu sizoni 4 omwali ebya Champions League bibiri ate nga byombi yakuba ManU ya Sir Alex Ferguson! Mu Bayern yawangula ebikopo 7 mu sizoni 3 sso nga mu Man City yaakawangula 4 mu sizoni bbiri n’ekitundu ze yaakamalamu.

 evin e ruyne owa an ity ku kkono ngattunka ne ele lli owa purs nkya battunka mu hampions eague oluzannya lwa quarter Kevin De Bruyne owa Man City (ku kkono) ng'attunka ne Dele Alli owa Spurs. Enkya battunka mu Champions League oluzannya lwa 'quarter'.

 

Waliwo abanafuya Guardiola nti si wa kitalo nnyo wabula abeera mu ttiimu ezirina abazannyi abasukkulumye. Wano boogera ku Barcelona eyalina Messi, Iniesta, Xavi, Eto’o, Valencia n’abalala sso nga Bayern yalimu Lahm, Ribery, Robben, Muller n’abalala.

Mu Man City, abamu bakissa ku ssente nti ze zisinze okumweyimirira kuba bamugulira buli muzannyi omulungi gw’asongako. Ensonga zonna eziweebwa ntuufu kyokka sikkaanya na banafuya Guardiola nti si mutendesi mulungi.

Omutendesi omulungi y’oyo afuula ab’ekibogwe abalungi. Sterling kati ssita okusinga bwe yali mu Liverpool, De Bruyne teyalabwawo Mourinho mu Chelsea kyokka kati tewali atamwegomba, Kyle Walker mu Spurs baali tebamulabamu nnyo muzinzi n’abalala.

 uardiola omutendesi wa an ity Guardiola omutendesi wa Man City.

 

Laporte, Mendy, Bernardo Silva, Sane, Moraes ne Guendogan mu ttiimu z’amawanga gaabwe babeera ku katebe kyokka mu Man City balungi lwa Guardiola. Omutendesi omulungi, abazannyi be bakola ebintu ne birabwa ng’ebyangu sso nga byonna biva mu bukugu bwe.

Guardiola alinga Fergie, ng’akyali mu ManU abantu bangi baalowooza nti okuwangula ebikopo kyangu kyokka yamala kuwummula ne bakakasa nti ye yali afuula abazannyi abalungi.

Guardiola simusuubira kuwangula bikopo bina sizoni eno naye kikyamu okumunafuya. Pep mutendesi wa kitalo.


kkawuma@newvision.co.ug
0772371990

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...