TOP

Joshua Cheptegei anaadduka mu z'e Qatar

By Nicholas Kalyango

Added 9th April 2019

Abaddusi mwenda beesunga mpaka za World Athletics Championships

Cheptegeiweb 703x422

Joshua Cheptegei n'omudaali gwa zaabu gwe yawangulidde mu Denmark

NG’OKULWANIRA ennamba ku ttiimu enaakikirira Uganda mu mpaka z’ensi yonna eza ‘2019 World Athletics Championships’ kukyagenda mu maaso, abaddusi mwenda bayiseemu, era balinze bannaabwe abalala okubeegattako.

Bano bonna  baayitiddemu mu Denmark, mu kibuga Aarhus wiiki bbiri emabega, mu mpaka za’ Aarhus World Cross Country’, Joshua Cheptegei mwe yawangulidde omudaali gwa zaabu.

Namayo Mawerere, omwogezi w’ekibiina ekitwala emisinde mu ggwanga, ekya Uganda Atheletics Federation (UAF), yagambye nti abaddusi bano bonna baatuusizza obudde bwe beetaaga okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ezigenda okubeera  mu kibuga Doha ekya Qatar wakati wa September 27 ne October 6.

 uliet hekwel Juliet Chekwel

 

Abaayiseemu kuliko; Cheptegei, Rachael Zena Chebet, Peruth Chemutai, Juliet Chekwel, Esther Chebet, Jacob Kiplimo, Thomas Ayeko, Joel Ayeko  ne Albert Chemutai.

Abaddusi abalala abakyalwanira ennamba baakuttunka ku Lwomukaaga nga April 13 e Namboole, mu mpaka za ‘4th UAF National Track and Field Competition’. Bano bagenda kuba balwanira n’ennamba ku ttiimu erigenda mu mizannyo gya Afrika egiribeera e Morocco nga August 20.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...