TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba Volleyball bamalidde mu kyamukaaga e Misiri

Aba Volleyball bamalidde mu kyamukaaga e Misiri

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2019

TTiimu ya Nemo Stars, eyagenda e Misiri okwetaba mu mpaka za Afrika eza volleyball emalidde mu kyamukaaga

Nemoweb 703x422

Abazannyi ba nemo Stars

Bya GERALD KIKULWE

 

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya Uganda emirundi etaano mu volleyball, aba Nemo Stars bamalidde mu kyamukaaga mu mpaka za '2019 Men’s African Volleyball Club Championship'.

Empaka zino ezaakamala wiiki ssatu nga ziyinda mu kibuga Cairo ekya Misiri zeetabwamu amawanga 22, wabula Nemo Stars yasubiddwa ekifo ekyokutaano bwe yakubiddwa El Etihad eya Libya ku bugoba 3-1, ku mutendera ogw’okulwanira ebifo.

 eorge poru kapiteeni wa emo tars George Aporu, kapiteeni wa Nemo Stars

 

Nemo Stars yayolesezza omutindo ogwa waggulu bwe yakubye ttiimu nnya mu z’ekibinja okuli; University of Zimbabwe(3-2), GSU(3-2), Mwangaza (3-1) ne AS FAG (3-0), bwetyo nga wadde  Asaria eya Libya yagiwangudde 3-0 mu gwasembyeyo, yasobodde okwesogga  'quarter'.

Ku 'quarter', Ahley Tripoli eya Libya gye yawangulidde Nemo Stars  ku bugoba 3-1, n'eva ku kulwanira ekikopo, n'edda mu kulanira ebifo

Eno ye ttiimu ya Uganda ekyasinze okukola obulungi mu bakyala n’abaami emyaka 38 empaka zino gye zimaze nga zitegekebwa. VVC ey’abakyala y’ebadde ekyali ku ntikko bwe yakwataekyomusanvu mu 2014.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo