TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Chelsea ne Arsenal zeesimbye mu muzibizi wa Spurs

Chelsea ne Arsenal zeesimbye mu muzibizi wa Spurs

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

Endagaano ya Alderweireld mu Spurs eggwaako sizoni ejja era ttiimu ez'enjawulo zaagala kumuggyayo.

Toby 703x422

Toby Alderweireld omuzibizi Arsenal ne Chelsea gwe zaagala.

Arsenal ne Chelsea ze zikulembedde olwokaano lw’okukansa omuzibizi wa Spurs, Toby Alderweireld.

 

Omuzannyi ono endagaano ye ebulako omwaka gumu kyokka bwe wabaawo ttiimu yonna eyagala okumukansa, yaakulinda mu bbanga lya wiiki bbiri ng’akatale kaggweeko kuba akawaayiro k’obukadde 25 akali mu ndagaano ye kaba tekakyakola.

 

ManU ye ttiimu eyasooka okwogereza Alderweireld kyokka kigambibwa nti mu kaseera kano, Chelsea ne Arsenal ze zirina enkizo.

 

Ekimu ku byagala okuggya

Alderweireld mu Spurs kya kuba nti ttiimu eno eremeddwa okuwangula ebikopo okuva lwe yagyegattako.

 

Tewannabaawo ttiimu ewaayo kusaba kwayo mu butongole kyokka Spurs esuubira ttiimu okujja nga zimuyaayanira ng’akatale kaweddeko.

 

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery yategeeza gye buvuddeko nti ttiimu ye yeetaaga omuzibizi ayinza okuggumiza ekisenge era kye kimu ku bifo by’ajja okusookerako okuguliramu omuzannyi ng’akatale kaweddeko.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi