TOP
  • Home
  • Ebirala
  • City Oilers etandikidde we yakoma mu basketball

City Oilers etandikidde we yakoma mu basketball

By Gerald Kikulwe

Added 14th April 2019

Ttiimu ya City Oilers, eraze nga bw'eyagala okuddamu okuwangula ekikopo kya liigi bw'ekubye Betway Powers mu guguddewo liigi

Cityoilersweb 703x422

David Opolot (ku kkono) owa Betway Powers, ng'agezaako okuyita ku Tony Drileba owa City Oilers

JKL Lady Dolphins 70-49 KCCA Leopards (abakazi)

MUK Sparks 41-62 KIU Rangers(abakazi)

Betway Powers 66-69 City Oilers (abasajja)

CITY OILERS,  bannantameggwa ba liigi ya basketball emirundi mukaaga egy’omuddiring’anwa, baatandikidde we baakoma sizoni ewedde, bwe bawangudde Betway Powers ku bugoba 69-66 mu gwaguddewo liigi.

Mu gwaggulawo sizoni ewedde, Betway Powers yakuba City Oilers ku bugoba 64-56, wabula ensisinkano zonna ezaddako City Oilers n’eziwangula.

Betway Powers yatandikidde mu ggiya era ekitundu ekisooka yakomazeeko ekulembedde n’obugoba 36-30, ekyawadde abawagizi amaanyi nti bayinza okufuna ku ssanyu, naye City Oilers teyabaganyizza.

Jimmy Enabu, kapiteeni wa City Oilers, yagambye nti  wadde balina ebikopo mukaaga, bagenda kuzannya ng’abanoonya ekisooka kubanga baagala kumenya likodi.

City Oilers ne Falcon be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi mukaaga buli omu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...