TOP

Aba hockey babinuka masejjere

By Silvano Kibuuka

Added 14th April 2019

Abakulira omuzannyo gwa hockey basambira mabega nga jjanzi, kkampuni ya Uganda Baati bwe baayiyeemu kavvu.

Hockeyweb 703x422

George Arodi (mu ssuuti) ne kitunzi waayo, Macklean Ainebyoona nga bakwasa aba UHA ceeke

 

Ab’omuzannyo gwa Hockey, babinuka masejjera oluvannyuma lw’okuyiikamu kavvu wa bukadde 20, ezibaweereddwa kkampuni ya Uganda Baati, okuddukanya liigi y’eggwanga.

Ceeke baagibakwasirizza ku kitebe kya kkampuni eyo mu Industrial Area, era agikulira George Arodi,  yategeezezza nti baagala kutumbula muzannyo guno Uganda esobole okuvuganya obulungi mu mpaka z’okusunsulamu abanaazannya mu Olympics e Japan omwaka ogujja.

“Hockey gwe gumu ku mizannyo egirudde mu Uganda ,wabula gusuuliriddwa, kye tuvudde tusalawo okugudduukirira,” Arodi bwe yagambye.

Ye akulira ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga, ekya  Uganda Hockey Association (UHA), Lydia Sanyu Dhamuzungu, yategeezezza nga bwe balina ennyonta y’okuzza Uganda mu Olympics gye yasemba okubeera mu  gyali mu  Zurich mu Switzerland mu 1972.

“Tugenda kuwa ttiimu ezinaawangula liigi ebirabo, okusasula baddiifiri, okutimba ekisaawe e Lugogo wamu n’okulaanga liigi yaffe. Liigi bw’eneeyongeramu okuvuganya, tujja kufuna abazannyi abalungi mu mpaka ez’okunsulamu eziribeera mu South Afrika, “ Dhamuzungu bwe yannyonnyodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...