TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aboomusu n'Omutima Omuyanja baneegera eryanyi

Aboomusu n'Omutima Omuyanja baneegera eryanyi

By Moses Kigongo

Added 14th April 2019

Ttiimu ya Nnabagereka wa Buganda, ey'Omusu, n'eya Katikkiro ey'Omutimba Omuyanja zaakwegera eryanyi mu maaso ga Ssaabasajja mu ziggulawo emipiira gy'Ebika bya Buganda

Mutimaweb 703x422

Kattikiro Mayiga (ku ddyo) ng'abuuza ku baddiifiiri abaalamula omupiira wakati w’Omutima Omuyanja n’Enjovu sizoni ewedde

TTIIMU ya Nnabagereka wa Buganda, Sylivia Nnagginda, ey'Omusu, n’eya Kattikiro Charles Peter Mayiga (ey'Omutima Omuyanja), zaakuttunkira mu maaso ga Ssaabasajja, ku mukolo gw'okuggulawo emipiira gy’Ebika bya Buganda omwaka guno.

Olukiiko olutegeka empaka zino,  ne minisita w'ebyemizannyo e Mmengo, Henry Kiberu Ssekabembe, be baatuuse ku kukkaanya kuno nga batema empenda ku ngeri ez'omwaka guno  gye zigenda okuddukanyizibwamu.

Omupiira oguggulawo gwe gumu ku gisuubirwa okubeerako abawagizi abangi kuba ng’oggyeeko eky’abantu okwagala okulaba ku Ssaabasajja, bajja kuba baagala okulaba anaamegga munne, wakati wa Nnabagereka ne minisita w’ebyettaka ne Bulungibwansi, Mayanja Nkalubo  (Abomusu), ne  Katikkiro Mayiga, Ow’omutima Omuyanja .

“Ssaabasajja yasiimye okulabikako eri Obuganda ku mukolo gw’okuggulawo empaka z’Ebika bya Buganda wakati w'abazzukulu b'Omutaka Kakeeto ab'Omutima Omuyanja, n'aba Nkalubo Abomusu, era tukunga abantu okujja mu bungi,” Ssekabembe bwe yategeezezza.

Obululu obulala bukwatibwa ku Mmande (April 15), mu kkooti ya Kisekwa, e Mmengo, sso ng’empaka zisuubirwa okutandika nga May 11.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono