TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Bulega owa Crested Cranes yeenaazizzaako ennaku

Bulega owa Crested Cranes yeenaazizzaako ennaku

By Stephen Mayamba

Added 16th April 2019

Faridah Bulega, atendeka Crested Cranes, yebbululidde mu gwa liigi y'abakazi

Liigiwebweb 703x422

Janat Thungu (ku kkono) owa Muteesa Royals ng'alwanira omupiira ne Aisha Namagembe owa Rines SS WFC.

Lango Queens 0-1 Uganda Martyrs

Kampala Queens 4-1 Makerere University

Muteesa I Royal 0-1 Kawempe Muslim

Ajax Queens 3-3 Dynamic Jjeza

She Corporates 0-0 Lady Doves

Olila H/S 0-1 Uganda Martyrs

Gafford Ladies 1-0 Rines SS

OBUSUNGU bw’okuwandulwa Ethiopia mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya Olympics, omwaka ogujja, Farida Bulega, atendeka Crested Cranes, yabumalidde ku Makerere University mu liigi ya FUFA Women Elite League.

Kampala Queens, etendekebwa Bulega mu liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi, yagudde ku ttiimu ya yunivasite y’ e Makerere ekiyiifuyiifu n’egiwuttula ggoolo 4-1, ng’eyita mu Annet Nakimbugwe, Aisha Namukisa, Dorah Nabukeera ne Precious Nambatya. Amina Nababi ye yateebedde Makerere.

Wiiki ewedde, Crested Cranes yakubwa Ethiopia ggoolo 4-2 n’ewanduka mu za Olympics,era abawagizi baavaayo ne banenya Bulega nti obukodyo bwe bwe bukubizza ttiimu.

E Buddo, bannyinnimu aba Ajax Queens ekirooto kyabwe eky’okuzannya mu kakung’uunta ka ‘Playoffs’ za semi, kyazzeemu omukoosi, Dynamic Jjeza bwe yabeezinzeeko okukkakkana ng’ebasudde amaliri ga ggoolo 3-3.

Mu mirala, Uganda Martyrs yawangudde  Olila H/S 1-0, She Corporates n’eremagana ne Lady Doves  nga tewali aleengedde katimba ka munne, bakyampiyoni aba Kawempe Muslim Ladies  baawangudde Muteesa 1 Royal University 1-0 ne Gafford Ladies n’ekuba Rines SS 1-0.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Hit2 220x290

Maama tonzita ebbinika nagiryamu...

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Enseenene: Omugano gwa November...

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda...

Mbarakuzi 220x290

'Abeenyigira mu ttemu mwekube mu...

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta...

Nana 220x290

Xhaka yeenyiyiddwa Arsenal: Agenda...

GRANIT Xhaka, eyaggyiddwaako obwakapiteeni bwa Arsenal olw’okuwemula abawagizi ayolekedde AC Milan eya Yitale....