TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Simwogerere owa Express alaze nti akyalimu ssupu

Simwogerere owa Express alaze nti akyalimu ssupu

By Samson Ssemakadde

Added 16th April 2019

Omutendesi wa Express FC, George Simwogerere ayambye Obusabadinkoni bw'e Mengo okweddiza ekikopo

Simweb 703x422

Abazannyi b'Obusaabadinkoni bw'e Mengo n'ekikopo. Wakati ye George Simwogerere

 

Nateete 0-1 Gayaza

Mengo 1-0 Kazo

OMUTENDESI wa Express FC, George Simwogerere, yayongedde okukakasa nga bw’akyalimu embavu z’okuzibira bwe yayambye Obusaabadinkoni bw’e Mengo okweddiza ekikopo ekyetabwamu Obusaabadinkoni obukola Obulabirizi bw’e Namirembe. Aba Mengo baateebeddwaamu ggoolo emu yokka.

Guno gwabadde mulundi gwa mwenda ng’empaka zino zitegekebwa abaami abeegattira mu kibiina ky’abafumbo nga zaatandikibwaawo Ssaalongo Dickson Kalyongo, ng’emu ku nkola y’okubuulirirako enjiri y’omukwano n’okumanyagana.

Omwaka guno empaka zeetabiddwaamu Obusaabadinkoni butaano okwabadde; Mengo, Gayaza, Luzira, Kazo ne Nateete.

Simwogerere yaduumidde ekisenge kya Mengo ne bawangula Nateete 4-0, Gayaza ne Kazo 1-0, n’okukubwa Luzira 1-0.  Mengo ekikopo yakitwalidde ku muwendo gwa ggoolo, kuba baateebye 6  ne bakubwamu emu.  Gayaza,  eyakutte ekyokubiri baagisinzeeko ggoolo emu yokka.  

Ku mukolo guno era, ekibiina ky’abaami abafumbo kyasiimye abaaliko bassita ba ttiimu y’eggwanga ‘The Cranes’, okuli Simwogerere ne Kefa Kisala (Mengo), Tom Lwanga (Gayaza) ne Paul Ssali (Nateete), era nga buli omu baamuwadde omudaali.

Empaka zino zaabadde ku kisaawe kya African Bible University e Lubowa ku Ssande.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Church 220x290

Eyavunaanibwa ne RDC Sakwa naye...

OMULAMUZI akulira kkooti ento mu Jinja, Jesca Chemeri ayimbudde omu ku basajja ababiri abavunaanibwa ne RDC wa...

Run 220x290

Owa Poliisi aggyiddwa mu ofiisi...

AMYUKA ddayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Joseph Obwona aggyiddwa...

Ugx 220x290

Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe...

JUSTINE Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe omukozi w’oku Ttiivi bwe bamaze ekiseera nga bagugulana kyokka ono amulabudde...

Bwetyo 220x290

Dokita w'e Mbale atemuddwa mu ntiisa!...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Namatala mu munisipaali y’e Mbale, omusawo ate nga mutuuze mu kitundu kino, bw’asangiddwa...

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu