TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Proline ne Kiboga balwanira ntikko ya kibinja mu Big League

Proline ne Kiboga balwanira ntikko ya kibinja mu Big League

By Gerald Kikulwe

Added 16th April 2019

NG’EBULA emipiira ena gyokka ttiimu za Big League okufundikira enzannya z’ebibinja, obunkenke buzinzeeko ttiimu ya Proline FC oluvannyuma lw’emikisa gy’okudda mu “Super” butereevu okujjamu omukoosi.

Brianmugumeowakibogakukkonongattunkanewilsonkatendeowawater2 703x422

Brian Mugume owa Kiboga ku kkono ng'attunka ne Wilson Katende owa Water (1)

Leero (Lwakusatu) mu Big League

Proline FC – Bumate United FC, Lugogo

Lwakuna

Doves FC – Water FC, Masindi

Ntinda United FC – Kansai Plascon, Lugogo

Kireka United FC – Kiboga Young FC, Namboole

Kyetume FC – UPDF FC, Nakisunga

Light SS FC- Bukedea T/C FC, Amuria

Kataka FC – Entebbe FC, Mbale

Nebbi Central FC – Wakiso Giants FC, Nebbi

Proline yatandika n’ebbugumu era ng’ekuba buli agisala mu maaso wabula w’osomera bino nga ttiimu ya Kiboga Young FC egitaddeko akazito okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori nga kati akabonero kamu kokka ke kabaawula ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori.

Ekitundu kya sizoni eky’asooka Proline yakungaanya obubonero 23 ate Kiboga n’efuna 21 wabula mu mipiira 6 egy’akazannyibwa mu kitundu eky’okubiri, Proline ekungaanyizza 11, Kiboga 12, ekiraga nti Proline eddiridde ate nga ku mipiira bombi gye babuzaayo,egya Kiboga myanguko okusinga egya Proline.

Proline erina okukyalira Kiboga young FC gw’avuganya naye ku ntikko y’ekibinja ate eyamukubira ku Star Times e Lugogo(2-1)mu kitundu eky’asooka, erina okukyaza Kansai Plascon eri mu kifo ekyokusatu ku kimmeeza nga nayo eky’alina essuubi ly’entikko kuba akulembedde amusing obubonero 3 bokka. Leero(Lwakusatu) akyalira Bumate gwe yakuba 3-0 e Bundibuggyo,asembyeyo Kabale Sharp ku bugenyi.

Kiboga esigazzaayo  Kireka United FC (ku bugenyi) ne Kira United FC (awaka), bano bombi balwanyisa butasalwako,ezannye Proline(awaka) ne Doves FC eyabakubira e Baamusuuta(1-0).

Okuwangula emipiira gyonna kiwa Proline enkizo okwesogga “Super” butereevu naye ssinga ekubwamu oba n’ekola amaliri ate Kiboga n’ewangula egy’ayo, Proline yaakuyita mu “Play offs” wabula minzaani y’okwesogga butereevu yeewunzikidde ku kiboga olw’obuzito bw’emipiira buli omu gy’asigazza.  

Felix Ssekabuuza atendeka Kiboga agamba nti ayagala obubonero 10 mu mipiira 4 egigaddeyo era ng’atandika nakuwangula gw’enkya ng’akyalidde Kireka United FC e Namboole, ate ye Shafik Bisaso atendeka Proline agamba nti azze akyogera lunnye nga bwe yajja okukomyawo ttiimu mu “Super”, okukulembera ekibinja ssi ky’ekikulu naye okutuukiriza ekirooto kya ttiimu.

Proline y’ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 34 Kiboga Young FC(33), Kansai Plascon(31) bonna babuzaayo emipiira 4 buli omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...