TOP

Lwakataaka azzeemu okuwangula ez'e Masaka

By Gerald Kikulwe

Added 16th April 2019

KAFULU w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataaka amezze banne 40 omulundi ogwokubiri ogwomuddiringanwa mu mpaka za Tarvan Kick SMC Masaka Challenge Rally n’adduuluka.

Lwakataaka5 703x422

Zino zibadde mpaka za mulundi gwa kusatu ku kalenda y’emmotoka omwaka guno nga z’amaze ennaku ssatu e Masaka era omwana enzaala y’e Buddu Lwakataaka ye yazeetisse nga bwe gwali omwaka oguwedde, wano we yasinziridde n’awera eri abo ab’abadde bagamba nti yaggwaamu.

Omwaka oguwedde Lwakataaka yamalako empaka za mulundi gumu gwokka e Masaka wabula bwe yeetaba mu z’e Mbarara emmotoka n’efiira wakati mu lugendo ate n’e Fortportal era emmotoka n’efa, wabula ku mulundi guno yaguze ecuuma ekipya Subar N12B eky’amuwanguzza mu ssaawa 1:15:21 n’afuna 100.

“Nabalabudde nga tutandika ku lwokutaano nti nze tebampangulira waffe,mukama mulungi amazizaako obulungi era nzikiriza sigenda kuddiriza muliro, ababadde mu kubo ly’abawanguzi b’omwaka beesege,” Lwakataaka bwe yategeezezza.

Ronald Ssebuguzi n’amusomera maapu Leon Ssenyange be b’amalidde mu kyokubiri n’obubonero 80 mu ssaawa1:15:19. Wabula be bakulembedde ku kalenda y’omwaka n’obubonero 240.

Duncan Mubiri ne Musa Nsubuga mu Subaru GVB b’amalidde mu kyokusatu mu ssaawa 1:16:48.

Jas Mangat (kyakuna)

Omar Mayanja(kyakutaano)

Kepher Walubi(kyamukaaga)

Hassan Alwi Junior(kyamusanvu)

Christakis Fitidis(kyamunaana)

Yassin Nasser(kyamwenda)

Arthur Blick Junior(kkumi)

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...