TOP

She Cranes, ekubiddwa enkata

By Moses Kigongo

Added 17th April 2019

Ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, The She Cranes, eweereddwa eby'okukozesebwa nga yeetegekera World Cup

Katumwaweb 703x422

Abazannyi n'abakungu ba She Cranes nga balaga ebikozesebwa ebyabaweereddwa. Ku ddyo ye Jocelyn Ucanda ate owookusatu ku kkono ye Annet Kisomose . David Katumwa yaali mu ssuuti.

TTIIMU y’eggwanga ey’okubaka, The She Cranes, yeeyongeddemu ebbugumu bw’eweereddwa  ebyeyambisibwa mu kutendekebwa, esobole okwetegekera obulungi World Cup.

Kkampuni ya Katumwa Sports Center, ng’ekulemberwa David Katumwa, agikulira, yawadde She Cranes ebikozesebwa mu kutendekebwa okuli; emipiira, obutimba omuterekebwa emipiira, ffirimbi wamu ne kkooni ezeeyambisibwa mu kutegeka pulogulaamu y’okutendekebwa obulungi.  Ebintu bino byonna bibalirwamu 8,500,000/-.

Jocelyn Ucanda, maneja wa ttiimu, ne Annet Kisomose, omuwandiisi w’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ‘Uganda Netball Federation (NFA), baatenderezza Katumwa olw’okubeera ne She Cranes ku mutima, kuba buli lwe babeera n’empaka ez’omuzizinzi avaayo n’agidduukirira.

“Tusaba  bannabyamizannyo abalala nabo batukwatireko kubanga ttiimu yaffe ffenna,” Ucanda bwe yategeezezza. Baabadde  ku dduuka lya Katumwa Sports Center mu Kampala ku Lwokuna.

Katumwa yeebazizza She Cranes olw’obutakoma ku kwolesa mutindo mulungi mu World Cup, wabula n’okulaga embalirira ennungi eri abavujjirizi.

Empaka zaakubeera mu kibuga Liverpool e Bungereza, okutandika nga July 12. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...