TOP

Klopp tayagala kwogera ku Messi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

Wabula mu Barcelona, mwe muzannyira Messi, afuuse omuteego sizoni eno nga yaakateeba ggoolo 10 mu mpaka zino era y'asinga abateebi mu mpaka zino.

Klopp 703x422

Klopp

JURGEN Klopp, atendeka Liverpool ategeezezza nga bw'atayagala muntu amubuuza ku bya Lionel Messi mu kaseera kano.


Kino kiddiridde Liverpool gy'atendeka, okuwuttula Porto ggoolo 4-1 mu mupiira gw'okudding'ana mu mpaka za Champions League. Era, Liverpool yayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 61 okwesogga semi gy'egenda okuzannyira Barcelona.


Wabula mu Barcelona, mwe muzannyira Messi, afuuse omuteego sizoni eno nga yaakateeba ggoolo 10 mu mpaka zino era y'asinga abateebi mu mpaka zino.
Klopp bwe yabuuziddwa kiki ky'agenda okukolera Messi nga basisinkanye Barcelona ereme kubaggyamu, ye yategeezezza nti alina bingi by'alowooza mu kaseera kano ng'ebya Messi, tannabissa mu mutwe.


"Tulina okuwangula Cardiff gye tuzannya ku wiikendi ng'ate n'ekikopo kya Premier tukyagla kati ebya Messi sinnabissa mu ndowooza," Klopp bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Ekisenge ky’essomero kisse 6

Ekisenge ky’essomero kisse 6

Kip2 220x290

Abeebijambiya balumbye amaka ne...

Abeebijambiya balumbye amaka ne batta omukyala

Lip2 220x290

Ebintu 11 Mufti Menk byalekedde...

Ebintu 11 Mufti Menk byalekedde Abasiraamu

Jup2 220x290

Ebikwata ku Ssebuufu owa Pine

Ebikwata ku Ssebuufu owa Pine

Buf2 220x290

Engeri Ssebuufu gye yakwatibwa...

Engeri Ssebuufu gye yakwatibwa okuggulwako ogw’obutemu