TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Chelsea etaddewo likodi mu mpaka za Bulaaya

Chelsea etaddewo likodi mu mpaka za Bulaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Chelsea yasemba okuwangula Europa League mu sizoni ya 2012-2013 bwe yakuba Benfica.

2018chelseavslaviaprahagiroud 703x422

Tomas Soucek owa Slavia Praha (ku ddyo) ng'attunka ne Pedro mu nsiike eyabaddewo ku Lwokuna ekiro.

CHELSEA eyingidde ebyafaayo nga ttiimu ya Bungereza eyasoose okuwangula emipiira 11 egya Bulaaya mu sizoni emu.

Chelsea yawangudde Slavia Praha ggoolo 4-3 ne yeesogga oluzannya lwa semi mu mpaka zino.

Okuva lwe zaatandika, batababi ba Maurizio Sarri bano tebannakubwamu mupiira gwonna nga baakawundula 11 ne balemagana omupiira gumu.

Nga bawangula Slavia Praha eya Czech Repulic, Pedro yateebyeeko ggoolo bbiri, eya kyeteeba eya Simon Deli ssaako eya Olivier Giroud.

 iroud akulembedde abateebi mu mpaka zino ne ggoolo 10 Giroud akulembedde abateebi mu mpaka zino ne ggoolo 10.

 

Ggoolo eno yayongedde Omufalansa ono amaanyi okwenywereza ku ntikko y’abateebi b’empaka zino nga yaakateeba ggoolo 10.

Chelsea yayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 5-3 nga ku semi eggenda kwambalagana ne Frankfurt eya Girimaani nga May 2 e Girimaani badding’ane nga May 9 e Bungereza.

Chelsea erwana kuwangula kikopo kino mulundi gwakubiri mu byafaayo ng’ekyasooka yakiwangula mu May wa 2013.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...