TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi mu kafubo

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi mu kafubo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Guardiola2 703x422

Guardiola

ENKYA ku Lwomukaaga, Man City ezannya Spurs mu Premier kyokka Pep Guardiola atendeka Man City ayise abazannyi be ababuulire obukulu bw’omupiira guno.


Man City, ebaza kikopo kya Premier kye balwanira ne Liverpool kyokka Guardiola aludde nga yeepika nga bw’agenda okuwangula ebikopo 5 sizoni eno oluvannyuma lw’okusitukira mu Community Shiled, League Cup, ali ku fayinolo ya FA Cup, mu Premier ekyalwana kyokka ekya Champions League nakyo kye yabadde abala, baagiggyeemu.


Spurs, ye yagifudde ey’ebigere mu Champions League bwe yagiwandudde. Spurs yeemu, eyabawandudde, gye bagenda okuzannya. Kino kitanudde Guardiola n’ayita abazannyi be n’abasomera kigambo ku kigambo ekikwata ku bukulu bw’omupiira guno.

Guardiola agamba nti tayinza kukkiriza bazannyi be kumuswaza nga bakubwa ttiimu yeemu mu bbanga eritaweza wiiki. Abakuutidde okuggyayo buli kakodyo ke yali abaweddeko, bakube Spurs, essuubi ku kikopo lidde engulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...