TOP

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa

By Gerald Kikulwe

Added 19th April 2019

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Kookifelixssekubuuza31 703x422

Ssekabuuza, atendeka Kiboga Young FC

Kiboga Young FC eya Big League, yeekwasizza ddifiri Daniel Otim okuva e Soroti gw’erumiriza okubalyamu olukwe n’abaggya mu kibalo ky’okwesogga 'Super' obutereevu sizoni ejja. Ku Lwokuna, Kiboga yakubiddwa Kireka United FC ggoolo 3-2 mu Big League nga guno gwe gwabadde guwa Kiboga enkizo okutangaaza emikisa gy’okumalira ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori. Kiboga yeekwasizza nti ddiifiri yabasalirizza bwe yasse ggoolo zaabwe ssatu n’abamma ne peneti gye bagamba nti yabadde ntuufu.


Kiboga yazze mu mupiira guno ng’eyagala buwanguzi okwekuuma akabonero Proline FC k’ebadde ebasinga ku ntikko y’ekibinja olwo bwe bagikyaza (Proline) nga April 25, wiiki ejja bagyekubire okweddiza entikko nga bwe balinda emipiira ebiri egiba gibulayo (Doves FC ku bugenyi ne Kira United FC awaka).


Felix Ssekabuuza atendeka Kiboga agamba nti baddiifiri ba Big League abamu balabika bazze n’ekigendererwa nga kyakubalemesa buwanguzi.
Agattako nti omupiira gwa Kireka gwe baakuba ggoolo 4-0 mu nsisinkano eyasooka, baabadde basobola okuguwangula n’eggoolo nga 5-1, wabula ddiifiri Otim yagabidde Kireka ggoolo ez’ekyeyonoonero, n’asazaamu Penati ne ggoolo za Kiboga entuufu.

“Ekyabadde ku kisaawe e Namboole nga kirabibwa n’omuto nti omupiira gwabaddemu ekkobaane, naye ffe tuli bwana bwa nkoko, tujja kwetakulira okutuusa nga tufuuse ensonga,” Ssekabuuza bwe yategeezezza kyokka yo Kireka yabawangudde ggoolo 3-2.


Proline y’ekulembedde ekibinja kya Rwenzori mu Big League n’obubonero 37, Kansai Plascon(34), Kiboga Young(33) ne Doves FC(33).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...