TOP

Amateeka gabalemesezza empaka

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

Abazannyi babiri bagobeddwa mu mpaka za Henry Kaggwa Memorial Cup lwa butamanya ttiimu ntuufu ze balina kuzannyira

Drakekagerewanabukukumosesigambingattunkanejosephomondikukkonoweb 703x422

Moses Igambi (ku ddyo) owa Nabukuku ng'alwanira omupiira ne James Omondi

Bya DRAKE SSENTONGO

Jumba 3-0 Nabukuku

ABAZANNYI babiri; Shafik Ssenyonga ne Denis Bogere baawereddwa mu mpaka za Henry Kaggwa Memorial Cup, ezagguddwaawo e Kimenyedde mu Nakifuma ku Mmande.

bombo baazuuliddwa nga balina layisinsi bbiri, ekintu ekikontana n'amateeka g'empaka zino. Ssenyonga yazuuliddwa ng'alina layisinsi Nanga FC ne Wanjeyo Young FC, ate  nga Bogere yeewandiisa mu Bukasa I FC ne Bukasa II FC. 

"Ttiimu yonna eneezannyisa abazannyi bano egenda kufiirwa obubonero," Fred Ssimbwa ateeka ensimbi mu mpaka zino, bwe yagambye.

 simbwa ku ddyo ngalambula ennyiriri zabazannyi Ssimbwa (ku ddyo) ng'alambula ennyiriri z'abazannyi

 

Mu mupiira ogwagguddewo, Jumba yawangudde Nabukuku ggoolo 3-0, ezaateebeddwa Isaac Ssembalirwa (2) ne Deogratus Ochola.

Ttiimu endala ezeetabye mu mpaka zino kuliko; Kisoga, Kawuku, Namakomo, Kibiribiri, Galigatya, Kiyiribwa, Mayangayanga, Wabusanke, Kiwafu ne Magonga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...