TOP

Emery atadde abazannyi 7 ku katale

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

Emery, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera k'abatunde agule abalala.

Emery1 703x422

Emery

UNAI Emery, atendeka Arsenal atadde abazannyi 7 ku katale n’ategeeza ttiimu ezibaagala, okubagula.


Emery, eyasikira Arsene Wenger ku butendesi bwa ttiimu eno sizoni ewedde, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera kwe kwagala okubatunda olwo afunemu ensimbi ezinaakugula abazannyi b'ayagala.


Gw’asoosezza ku lukalala ye Shkodran Mustafi, omu ku bazannyi abaazannye amanyanga nga bakubwa Crystal Palace (3-2) ku wiikendi era n’abakungu baayo bagamba nti bukya agulwa mu Valnecia ku nsimbi obukadde bwa pawundi 35, tannazza magoba.


Mu bazannyi abalala b’ayagala waakiri okuwaanyisaamu kwe kuli ne ssita wa ttiimu eno; Mesut Ozil ne Henrikh Mkhitaryan kyokka ng’era abanaayagala okugula Mohamed Elneny ne Carl Jenkinson nabo abaaniriza. Mu balala b’atunda kuliko Calum Chambers ne David Ospina be yali yayazika ttiimu endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...