TOP

Pogba abotodde ekyama

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Pogba agamba nti eky'obutazannya Champions League sizoni ejja tajja kukigumiikiriza.

Pogba 703x422

Pogba

PAUL Pogba akawangamudde, bw'akubye abamu ku bazannyi banne akaama nti ayagala kwabulira ManU. Bino birudde nga biyiting'ana nti omuwuwuttanyi ono ayagala kuva mu ManU ng'era ttiimu okuli Juventus mwe yava ne Real Madrid ze zimu ku zaagala okumugula.


Kyokka kigambibwa nti ekyongedde okutanula Pogba okuva mu ManU, kye ky'okuba nti bayinza okulemwa okukiika mu Champions Legue sizoni ejja. Mu kiseera kino, ManU eri mu kifo kyamukaaga mu Premier nga leero ezannya Man City erwanira ekikopo.


Wabula kyandibanga n'omutendesi Zinedine Zidane atendeka Real ate nga Mufalansa, asikiriza Pogba okwagala okugenda eyo. N'abakugu abamu bazze bakuba ebituli mu nzannya ya Pogba nga bagamba nti ensimbi ezaamugula zaafa busa nga ne Everton bwe yabadde ebamegga ggoolo 4-0 ku Ssande, teyabataasizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana