TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Arsenal tekubwangako mupiira gutandise ssaawa 6:00

Arsenal tekubwangako mupiira gutandise ssaawa 6:00

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Bukya liigi ya Bungereza etuumwa Premier, Arsenal tekubwangako mupiira gw’ezannye ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu e Bungereza.

Lacazatte3 703x422

Lacazette owa Arsenal

ARSENAL yeetaaga wiini mu buli ngeri. Ezannya Leicester enkya ku Ssande mu Premier kyokka eguyingidde eri mu kifo kyakutaano.

Arsenal ekyalina essuubi erimalira mu kifo ekyokuna etere ezannye Champions League sizoni ejja. Wabula erina okuwangula emipiira egisigaddeyo ng'ate bw'esabirira Chelsea esuuleyo mu gisigaddeyo. Enkya ku Ssande ezannya Leicester.


Omupiira guno gwa ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu e Bungereza kyokka ng’e Uganda, zijja kuba ssaawa 8:00 ez’emisana. Ekimu ku bizzizzaamu Arsenal essuubi, kye ky’okuba nti bukya liigi ya Bungereza etuumwa Premier, Arsenal tekubwangako mupiira gw’ezannye ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu e Bungereza.

Ku mipiira 19 gy’ezannye ku ssaawa 6:00 ez'omu ttuntu e Bungereza, ewanguddeko 15 ng’emirala 4 egudde maliri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...