TOP

Aba Express bubeefuse ne Bright Stars

By Stephen Mayamba

Added 28th April 2019

Abazannyi ba Express n'aba Bright Stars bagwang'anye mu malaka mu semi za Stanbic Uganda Cup

Expressweb 703x422

Abazannyi nga basikang'ana ebitogi

EBIKONDE katono binyooke mu mupiira wakati wa Bright Stars FC ne Express FC abazannyi bwe bagwananye mu malaka oluvannyuma lwa Andrew Kaggwa okuzannyisa ettima ku Arthur Kiggundu. Bright Stars yabadde ekyazizza Express FC e Mwererwe mu luzannya  olusooka ku semi y’empaka za Stanbic Uganda Cup.

Ddifiiri Ashadu Ssemere n’abatendesi ba Express abaakulembeddwa George Ssimwogerere, James Magala ne Yusuf  Balyejjusa badduse mu kisaawe okutaawulula abazannyi baabwe n’aba Bright Stars abaabadde batandise okusikang’ana ebitogi oluvannyuma lw’omuzibizi wa Bright Stars Andrew Kaggwa okulinnya Arthur Kiggundu mu ngeri embi ennyo.

 am enkoomi owa right tars  ku kkono ngalwanira omupiira ne icheal irungi owa xpress  mu gwoluzannya olusooka ku semi ya tanbic ganda up Sam Senkoomi owa Bright Stars FC (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Micheal Birungi owa Express FC mu gw'oluzannya olusooka ku semi ya Stanbic Uganda Cup

 

Embeera bwe yakkakkanya nga Kaggwa aweereddwa kaadi emmyuufu, ate olutalo lw’abawagzi abaabadde bakasuka amayinja mu kisaawe nalwo ne lukooreera ekyaviriiddeko omupiira okuwummula okumala eddakiika nga 10.

Oluvannyuma abaserikal baayongeddwa ku kisaawe omupiira ne gugenda mu maaso.

Omupiira gwawedde ggoolo 1-1 ng’eya Express yateebeddwa Micheal Birungi mu ddakiika eya 50  ate eya Bright Stars eyabadde eya peneti n’eteebwa Nelson Ssenkatuuka oluvannyuma lw’eddakiika ssatu zokka

Ssimwogerere yategeezezza nti Express mumativu n’amaliri ge baafunye e Mwereerwe, n’asuubiza nti e Wankulukuku baakuwangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...