TOP

Emery amenye likodi ya Arsenal embi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2019

emikisa gya Arsenal okukiika mu Champions League giri mu lusuubo.

2018arsenalvleicester57 703x422

Sokratis owa Arsenal ng'attunka ne Jamie Vardy owa Leicester (ku ddyo).

OMUTINDO gwa Arsenal omubi nsangi zino gutandise okwoleka ebituli mu bukodyo bw’omutendesi Unai Emery ne gigissa mu kattu k’okusubwa ebifo ebina ebisooka.

Arsenal yakubiddwa Liecester City ggoolo 3-0 mu Premier n’eweza omupiira ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa mu Premier ng’ekubwa (Crystal Palace, Wolves ne Leicester) ekyali kyasemba okubaawo ku mulembe gwa Arsene Wenger.

Arsenal yataddewo likodi endala embi bwe baagisinze okwefuga omupiira omulundi ogusoose mu myaka etaano.

mery omutendesi wa rsenalEmery omutendesi wa Arsenal.

 

Arsenal yeefuze omupiira ebitundu 32.8 ku 100 ky’ekyasinze okukola obubi okuva mu 2014 bwe baali balemagana ne Liverpool 2-2.

Ku mulundi ogwo Arsenal yeefuga omupiira ogwo ebitundu 35 ku 100 era ku mulembe gwa Wenger ogwo gwe mupiira ttiimu gye bazannya gwe yasinga okubakwekako omupiira.

Omupiira gwa Leicester gwalese Arsenal mu kyokutaano kyokka ng’emikisa gyayo okumalira mu bana abasooka ekiike mu Champions League mitono ddala.

Chelsea eri mu kyokuna eri ku bubonero 68 nga Arsenal eri ku 66. Singa buli omu awangula emipiira gye egisigaddeyo, Arsenal ejja kuviiramu awo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana