TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Express ne Bright Stars bagwang'anye mu malaka e Mwererwe

Aba Express ne Bright Stars bagwang'anye mu malaka e Mwererwe

By Stephen Mayamba

Added 29th April 2019

EBIKONDE katono binyooke mu mupiira wakati wa Bright Stars FC ne Express FC abazannyi bwe bagwananye mu malaka nga oluvanyuma lwa Andrew Kaggwa okuzannyisa ettima ku Arthur Kiggundu nabulako katono okumummenya okuggulu.

Brightstarsexpress18 703x422

Abazannyi nga basikangana ebitogi

Bright Stars 1-1 Express FC

Bright Stars yabadde ekyaziiza Express FC e Mwererwe mu gw’oluzannya olusooka ku semi y’empaka za Stanbic Uganda Cup.

Ddifiiri Ashadu Ssemere n’abatendesi ba Express abakulembeddwa George Ssemwogerere, James Magaala ne Yusuf  Balyejjusa badduse mu kisaawe okutaawulula abazannyi baabwe m’aba Bright Stars ababadde batandise okusikangana ebitogi oluvanyuma lw’omuzibizi wa Bright Stars Andrew Kaggwa okulinya Arthur Kiggundu mu ngeri embi ennyo.

Oluvanyuma lw’embeera okukakkana nga Kaggwa awereddwa kaadi emyufu ate olutalo lw’abawagzi ababadde bakasuka amayinja mu kisaawe nalwo ne lukoreera ekyaviriiddeko omupiira okuwumula okumala eddakiika nga 10.

Omupiira gwawedde ggoolo 1-1 ng’eya Express yateebeddwa Micheal Birungi mu ddakiika eya 50’ ate eya Bright Stars eyabadde eya peneti neteebwa Nelson Ssenkatuuka oluvanyuma lw’eddakiika satu zokka

Ssimu tamatidde.

Oluvanyuma lw’omupiira George Ssemwogerere atandeka Express FC yategeezezza nti abazannyi be bazannyisiza bumalirivu era mumativu n’amaliri gebafunye mu kisaawe ky’e Mwererwe ekibi ekitaganya ttiimu zisambako okugyako okukubayo obukubi omupiira.

“Ekisaawe kino kibi nnyo tekikiriza ttiimu kuzannya ku upiira okugyako okusimulayo obusimuzi ekyetaagisa okukozesa maanyi amangi. Mu mbeera eno ndi mumativu ne kyetusobodde okufuna mu mupiira gwa leero naffe katubalinde ewaffe zidde okunywa.’ Ssemwogerere bwe yategeezezza.

Ne Paul Kiwanuka amyuka omutendesi wa Bright Starsnaye yagambye nti omupiira gwabakaluubiriddemu naddala oluvanyuma lw’okufuna kaadi emyufu wabula bagenda kwetegekera ogw’okuddingana e Wankuluku era akiriza nti balina obusobozi obukubira Express omwayo.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....