TOP

ManU ekyali mu lutalo okusigaza Pogba

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2019

Pogba kati ayagala kwegatta ku Real Madrid etendekebwa Zinedine Zidane.

Pogba 703x422

Pogba

MAN United eyingidde olutalo olw’omulundi ogwokubiri, olw’okulaba ng’esigaza Paul Pogba.


Akatale k’abazannyi kaggulwawo mu August wabula ng’aka sizoni ewedde bwe kaali nga Pogba ayagala kwabulira ManU agende mu Barcelona, n’aka luno alabise okukatandika ng’era yeecwana.


Pogba, azze ayogerwako okulemwa okusitula ManU ng’era bagamba nti ekyamuguza ensimbi ennyingi kyali kyagwala ManU ewangule ebikopo kyokka ManU kati erwana kumalira mu bana abasooka mu Premier nga n’ebikopo sizoni eno terina ky’ewangudde.


Ku mulundi guno, Pogba ayagala kwabulira ManU wabula ng’ate eriiso alitadde ku kwegatta ku Real Madrid ng’agamba nti ayagala kuzannyira wansi w’omutendesi Omufalansa Zinedine Zidane. Ne Real Madrid, erabika eperereza Pogba okuggumiza ttiimu.


Kyokka mu kiseera kino, abakungu ba ManU bagamba nti Pogba tebamutunda ng’endagaano ye ne ManU ekyaliko emyaka 2 miramba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana