TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo

Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2019

Aubameyang agamba nti ayagaliza Frankfurt y'eba etuuka ku fayinolo ya Europa League.

Aubameyang1 703x422

Lacazette ne Aubameyang aba Arsenal

OMUTEEBI wa Arsenal, Emerick Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo ya Europa.

Arsenal, eringa eyeebalira ku fayinolo ya sizoni eno oluvannyuma lw’okuwangula Valencia (3-1) mu luzannya lwa semi olwasoose. Mu gw’okudding’ana wiiki ejja, Arsenal ne bw’ebukwa ggoolo 2-1 eba eyitawo.


Yo Chelsea nga yagudde maliri ne Frankfurt (1-1) yeetaaga buwanguzi okwesogga fayinolo. Wabula nga Arsenal bwe yamaze dda okwebalira ku fayinolo, ye Aubameyang atandise okukubaganyaamu ebirowoozo ku ttiimu gy’atayagala kusanga era agamba nti okusanga Chelsea, waakiri Frankfurt eyitewo gye baba bazannya nayo.


“Ndabanga Frankfurt ennyangu ey’okuwangula okusinga ku Chelsea,” Aubameyang bwe yategeezezza. Wabula Arsenal y’esembyeyo okukuba Chelsea (2-1) mu Premier mu January w’omwaka guno.

Arsenal eruubirira kuwangula Europa, ekozese omukisa guno ekiike mu Champions League sizoni ejja kuba eby'okumalira mu kifo ekyokuna mu Premier, erina kusaba nnyo. Mu kiseera kino, Arsenal eri mu kifo kyakutaano mu Premier ng'ebula emipiira 2 liigi eggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...