TOP

Suarez yeekwasizza bazibizi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

Suarez agamba nti abazibizi ba Barcelona be baalemeddwa okuzibira obulungi ekyaleetedde Liverpool okubakuba ggoolo 4-0.

Luis 703x422

Joel Matip owa Liverpool ng'asaze Suarez owa Barcelona ku lwokubiri

OMUTEEBI Luis Suarez yeekwasizza abazibizi ba Barcelona nti be baasubizza ttiimu ye okwesogga fayinolo ya Champions League.


Barcelona yattunse ne Liverpool eggulu ku Lwokubiri mu mupiira ogw'okudding'ana ku semi ya Champions League kyokka Barcelona yaguyingidde egukulembedde ne ggoolo 3-0 ze yafuna mu luzannya olwasooka.


Wabula batabani ba Jurgen Klopp aba Liverpool, baakoze buli omu kye yabadde tasuubira, ne bawangula omupiira ne ggoolo 4-0 ze baabadde beetaaga okwesogga fayinolo eneebeera mu kibuga Madrid nga June 1.


Ggoolo ya Divock Origi mu ddakiika 7 ng'omupiira gwakatandika, ye yagguliddewo Liverpool emikisa olwo Georginio Wijnaldum n'ayongerezaako bbiri ate Alexander-Arnold n'ateeba eyookuna ng'ebula eddakiika 11 omupiira guggwe.


Okukubwa kwa Barcelona, kwafuuse okwokubiri Barcelona kw'ekyasinze okuswazibwa mu mpaka zino nga ne sizoni ewedde, Roma yagiva emabega ku ggoolo 4-1 ze yali agikulembedde wabula n'egiyunga n'egiggyako ku 'quarter' ya Champions League sizoni ewedde.


Ku mulundi guno, Suarez eyava mu Liverpool okwegatta ku Barcelona agamba nti eggulo, abazibizi ba Barcelona nga bakulembeddwa, Piqué ne Alba be baalemeddwa okuzibira obulungi ne batateebwa ggoolo nnyingi zityo. Kyokka okwekwasa kwe bakukubyemu ebituli nga bwe bamubuuza nti ye yabadde wa okuteeba ggoolo ezandibawadde obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Mulunde ebyennyanja - Museveni...

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe