TOP

Kitunzi wa Pogba akaligiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

Kitunzi wa Pogba akaligiddwa emyezi 3 nga teyeenyigira mu bya kutunda bazannyi

Pogba 703x422

Pogba

EKIROOTO kya Paul Pogba okwegatta ku Real Madrid, kitaataaganyiziddwa, kitunzi we bw’akaligiddwa FIFA.


Kitunzi wa Pogba ye Mino Raiola era y’abadde alina okukwasaganya ensonga ze ez’okuva mu ManU okudda mu kiraabu endala. Wbaula Raiola, yasoose kukaligibwa kibiina ekifuga omupiira mu Yitale ne kimussaako ekibaluwa obutaddamu kukwataganya bya kutunda bazannyi mu Yitale okumala myezi 3 wadde ng’ensonga emukaliza, tezinnayatulwa.

Kyokka Yitale ebadde yaakamukagaliga, n’ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna ekya FIFA, nakyo ne kifulumya ekiwandiiko ne kitegeeza nti bamukalize kwetoloola nsi yonna okumala emyezi 3 nga takkirizibwa kukwasaganya bya kutunda oba kugula bazannyi kyokka ng'emyezi mwe kimukaligidde, mwe muli akatale k'abazannyi era nga kye kiseera, Pogba mw'alina okuviira mu ManU singa eba esazeewo okumutunda.


FIFA ne Yitale ezimukaliga teziwa nsonga eziviiriddeko okukola kino kyokka kigambibwa nti zandiba nga zivudde ku ddiiru gye yakola mu kuggya Gianluca Scamacca’ mu Roma okumutwala mu PSV.


Pogba, azze akyogera nti ayagala kwabulira ManU agende mu Real kyokka ng’era n’omutendesi wa Real, Zinedine Zidane naye alabika amwetaaga wadde ng’abakungu ba ManU ab’oku ntikko, balabikanga abatali beetegefu kumutunda.
Nga kitunzi we bw’akaligiddwa, kyandimubeerera ekizibu okuva mu ManU kati okwegatta ku Real Madrid

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...