TOP

kccfc eyiseemu kavu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

kccfc eyiseemu kavu

Hap2 703x422

Abazannyi ba KCCA ku kijjulo kya Loodi Meeya mu City Hall.

OLUKIIKO olufuga KCCA FC lweyamye okwongera okugipokera ssente n’obuwagizi ebeere emu ku kiraabu kirimaanyi ezeefuga omupiira gwa Afrika.

Akulira ebyekikugu, Tom Lwanga yagambye nti buli ddaala KCCA FC erituuseeko mu Uganda okuli obwassalongo (okuwangula liigi n’ekikopo kya Uganda Cup omulundi ogumu), okubeera n’abazannyi abalungi wamu n’abatendesi abasinga obukugu nga kati obwanga babutunuulizza bikopo bya Afrika.

Ku Lwokuna, omuyima wa KCCA FC, Loodi Meeya Erias Lukwago yagitegekedde ekijjulo makeke ku City Hall ng’agyebaza okuwangula ekikopo kya liigi y’eggwanga (Star Times Uganda Premier League) omulundi ogw'e 13.

Abazannyi n'abatendesi, yabawadde obukadde 32 nga akasiimo ne yeetonda nti zandisinzeewo kyokka ensimbi zaabadde teziriiwo. Loodi Meeya Lukwago yagambye nti mu mbalirira y’omwaka 2019/2020 bagenda kwongera KCCA FC ssente ate bayise n'endala obuwumbi butaano okumaliriza ekisaawe kya Star Times Lugogo Stadium.

Kino kigenda kuzimbibwa mu bitundu nga buli mwaka baakukisaasaanyaako akawumbi kamu okumala emyaka etaano.

Baakutandika n’ekifo ekituuza abakungu (paviriyoni). “Tugenda kwongera KCCA FC ssente kuba twagala esangulewo ttiimu kirimaanyi ku lukalu lwa Afrika okuli Al Ahly, Waydad Cassablanca, TP Mazembe, Mamelodi Sundowns n’endala,” Lukwago bwe yagambye.

MUTEBI YEEMULUGUNYIZZA

Omutendesi Mike Mutebi yeebazizza abakulira kiraabu olw’ensimbi ze bagissaamu kyokka ne yeemulugunya olwa ttiimu obutaba na luyimba lutongole oluggyayo ekifaananyi kyaayo ekituufu.

Yagambye nti asinga kuwulira bawagizi nga batiitiibya ennyimba za kiraabu z’Abazungu n'awabula nti KCCA FC yeetaaga oluyimba olwayo olugatta abazannyi n'abakulembeze baayo ku bawagizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...