TOP

Omutendesi bamukubye ne yekwasa ekisiibo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Omutendesi bamukubye ne yekwasa ekisiibo

Sab2 703x422

Bya Joseph Zziwa

TTIIMU baagitimpudde goolo ez’okumukumu omutendesi neyekwasa ng’abazannyi be ab’entomo bwebaabadde basiibye ekintu ekyasaze omutindo gwabwe.

Zaabadde mapaka za Ssemuko Cup ezabadde ku kisaawe kya Masajja ku Sunday nga ttiimu ya Makindye United yabadde ekyazizza St Pius FC gyetaawadde  kakisa anti mu dakiika 25 yabadde egikulembedde 3-0,St Pius yabadde ezannya mupiira gwakubiri mu mpaka zino nga ogwasooka yakubwa Kibira FC 2-1,Songa Makindye United gwegwabadde guggulawo.

Abazannyi ba St Pius beyongedde okwegiriisa olwo Makindye United n'esigala kugoba bisiikirize okukkakkana nga guwedde 3-0,Derrick Zziwa nga ye mutendesi wa Makindye United yategeezezza ng'abamu ku bazibizi be abalungi bwebaabadde basiibye ekyalese ekisenge nga kinyegenya ekintu ekyawadde omulabe waazi n'abakuba goolo eza yiriyiri,ate ye Rein Kabuye owa St Pius yategeezezza nga bweyakyuusizza mu nzannya n'asinga kukozesa wingi okwawukana ku mupiira ogwasooka mwebaabakubira 2-1 nga kyekyamuwadde obuwanguzi.

Empaka zino zetabiddwamu ttiimu 20 nga zitegekebwa kansala wa Masajja Kennedy Ssemuko buli mwaka nga guno mulundi gwa kusatu,mulimu ebirabo omuli ekikopo emijoozi n'ebiral

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...