TOP

Mbarara High ekomye ku munaabo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

Mbarara High erinze mpaka za mwaka gujja oluvannyuma lw'okuwandulwa mu ziyindira e Jinja olw'okuzannyisa ' omucuba'

Mbararambararaweb 703x422

Aziz Kayondo ( mu mujoozi ogwa bbulu), owa) St. Mary's SS Kitende ng'atangira Titus Wambedde owa Mbarara High

Bya BRUNO MUGOODA

TTIIMU ya Mbarara High ekomye ku munaabo bw’eremereddwa okweyongerayo ku luzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z’amasomero eza COPA Coca Cola.

Ku nkomerero y’emipiira gy’ebibinja ku Mmande, Mbarara yabadde ekung’aanyizza obubonero 14, ng’erindidde okuyitamu ne Kitende eyakulembedde ekibinja E ku bubonero 16, kyokka ne bakabatema nga bwe bagyiddwaako obubonero 3 olw’okuzannyisa omuzannyi eyagobwa mu mpaka zino.

Iganga Parents ye yeekubidde enduulu mu kaakiiko akategesi, ke yategeezezza nti Mbarara yazannyisa Peter Odeke ng’ebawangula mu mupiira ogwaggulawo empaka zino.

Odeke, yali yagobwa dda mu mpaka z'omwaka oguwedde ezaali e Mbarara oluvannyuma lw’okuzuulibwa nti akuliridde. Mu mpaka ezo yali azannyira Hill View.

Mbarara bw’etyo yasigazza obubonero 11, olwo Nakaseke International eyabadde emalidde mu kyokusatu ku 13, n’eyitawo nga nnamba bbiri.

Empaka z’omwaka guno ziyindira Jinja mu Busoga, nga zaategekeddwa Jinja College. Kkampuni ya Coca Cola y’ezissaamu ensimbi, era zikomekkerezebwa ku Lwamukaaga nga May 18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...