TOP

Empaka z'Amasaza zitongozeddwa

By Moses Kigongo

Added 14th May 2019

Essaza ly'e Ssingo likakasiddwa okutegeka omupiira oguggulawo empaka z'Amasaza ez'omwaka guno

Masazawebweb 703x422

Henry Ssekabembe (ku ddyo) ng’ali ne Sulaiman Ssejjengo (amuddiridde) ne Semei Mukwatambogo ku ofiisi ya Kisekwa ku Mmande.

BANNASSINGO baweze okuddamu okusitukira mu kikopo ky’Amasaza oluvannyuma lw’abakungu be Mmengo okukakasa nga bwe bagenda okutegeka omupiira oguggulawo empaka z’omwaka guno.

Minisita w’abavubuka okwewummuza n’emizannyo e Mmengo, Henry Kiberu Ssekabembe, ku Mmande yategeezezza nti empaka zaakubaawo ku Lwomukaaga nga June 1,ku Ssaza Grounds era zaakuggulwawo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi.

Omumyuka wa ssentebe w’olukiiko oluddukanya ttiimu y’e Ssingo, Semei Mukasa Gitta Mukwatambogo, yategeezezza nti lino lye kkubo erigenda okubatuusa ku kikopo ky’omwaka guno kuba balina okutandika n’obuwanguzi mu maaso ga Kabaka ate  baddemu okumusikako mu ngalo ku fayinolo.

Ssingo be bannantameggwa b’omwaka oguwedde, nga baawangula Buddu ggoolo 11- 10 eza peneti, oluvannyuma lw’eddakiika 90 okukomekkerezebwa nga buli ludda lulina ggoolo emu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala