TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba Chess battunka mu z'okusunsulamu za Afrika ez'amasomero

Aba Chess battunka mu z'okusunsulamu za Afrika ez'amasomero

By Silvano Kibuuka

Added 17th May 2019

Empaka zino zizannyibwa buli mwaka ng'eza luno zigendereddwaamu kunoonya abanaakiikira amasomero ga Uganda.

Chessjuniors2may172019 703x422

Bamusaayimuto nga basindana mu mpaka za Chess eza National Juniors mu woteeri ya Xanadu.

EMPAKA za chess eza bamusaayimuto ezaatandise ku Lwokusatu ziyingidde olunaku olwokubiri.

Abazannyi 150 nga kuliko abalenzi 81 n’abawala 69 be bali mu kusindana mu mpaka ezituumiddwa ‘Uganda Juniors Individual Chess Championships 2019’ ezizannyibwa buli mwaka.

Ensiitaano eri ku wooteeri ya Xanadu ku luguudo lwa Mackinon Street e Nakasero.

Empaka zino nga zizannyibwa buli mwaka ku luno zigendereddwaamu okunoonya abazannyi abanaakiikirira eggwanga mu mpaka za Afrika ez’amasomero ezigenda okubumbujjira mu Kampala omwezi ogujja.

Ssentebe wa Uganda Chess Federation, Emmanuel Mwaka ategeezezza nti okuvuganya kw’amaanyi wakati w’abazannyi bano wadde nga bato.

Asuubizza nti abo 84 abanaalondebwa, baakwongera okubangulwa okwetegekera empaka za Africa eza June 26 – July 4 ku woteeri y’emu eyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze