TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes ya Desabre n'eya Mubiru zenkanye evvumbe

Cranes ya Desabre n'eya Mubiru zenkanye evvumbe

By Silvano Kibuuka

Added 17th May 2019

Cranes enkulu eri mu kwetegekera mpaka za Afrika eziritandika nga June 21.

Cranes 703x422

Allan OKello (ku kkono) owa Cranes ya AFCON ng'alwanira omupiira ne Mustafa Kizza owa Cranes ya COSAFA. Baalemaganye (1-1).

Cranes AFCON 1-1 Cranes COSAFA

ABAWAGIZI b’omupiira beefuulidde ttiimu ya Cranes enkulu (egenda mu zaAfrika ng'etendekebwa Desabre) egenda mu mpaka za Africa Cup ne bawagira ento egenda mu mpaka za COSAFA e South Afrika etendekebwa Abdallah Mubiru.

Ttiimu zombi zaabadde mu gwa mukwano e Namboole abawagizi gye bakyukidde okuwagira eya COSAFA naddala olw’okubeeramu abazannyi abato.

Abalala bawaga lwa mutendesi Abdallah Mubiru bakira gwe bakoowoola okumulaga obuwagizi bw’atuuseeko okulondebwa okutendeka ttiimu ya Cranes.

Allan Kayiwa ye yasoose okuteebera Cranes ya COSAFA mu ddakiika y’e 15 ate mu y’e 70 Patrick Kaddu n’ateebera eya AFCON.

Eya COSAFA egenze Bushenyi olwa leero okusamba ogwa Cranes Regional Tour nga yeetegekera okusitula mu ggwanga okwolekera South Africa mu mpaka ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze