TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kyetume ewawaabiddwa lwa kuzannyiza bacuba

Kyetume ewawaabiddwa lwa kuzannyiza bacuba

By Gerald Kikulwe

Added 20th May 2019

Ttiimu ya Kyetume FC, ayakeegatta ku liigi ya 'Super' ewawaabiddwa lwa kuzannyisa bacuba

Kansaiwebweb 703x422

Henry Mugoya (ku kkono) owa Kansai Plascon ng'alwanira omupiira ne Robert Ssentongo owa Kyetume, ku Lwomukaaga e Lugogo

 

TTIIMU ya Kansai Plascon eya Big League ewaabidde Kyetume FC mu FUFA, lwa kusambisa bacuba.

Kyetume yawutudde Kansai Plascon ggoolo 4-1 ku fayinolo ya ‘Play offs’ ku Lwomukaaga e Lugogo, n’efuuka ttiimu eyookusatu okwesogga ‘Super’ sizoni ejja. Yeegasse ku Wakiso Giants ne Proline ezaayitamu obutereevu.

Abakulira Kansai Plascon baawandiikidde FUFA nga beemulugunya ku bazannyi babiri; Emmanuel Kalyowa (ggoolokipa) gwe balumiriza okuba omuzannyi wa Sofa Paka eya Kenya, n’omuteebi Vincent Owundo gwe bagamba nti azannyira Busia.

Peter Ssengonzi, amyuka omutendesi wa Kansai Plascon, agamba nti abazannyi bano bazze babalondoola okuva ekitundu kya Big League ekyokubiri lwe kyatandika, nga bazannyira Kyetume emipiira egimu nga bwe babaddayo mu ttiimu zaabwe.

 eter sengonzi Peter Ssengonzi

 

 “Obujulizi bwonna tubulina era twabuwaddeyo mu FUFA, “ Ssengonzi bwe  yannyonnyodde.

Wabula Aisha Nalule, akulira okutegeka empaka mu FUFA, yagambye nti ensonga ya Kansai Plascon tennatuuka mu ofiisi ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu