TOP

Ekibiina ky'ebikonde kinaarwanyisa siriimu

By Silvano Kibuuka

Added 20th May 2019

Ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga, kyegasse n'ebibina by'obulamu okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bazannyi

Boxingweb 703x422

Abamu ku bakulira ebitongole ebyegasse ku UBFederation okulwanyisa akawuka ka siriimu. Ku kkono ye Dr. Karusa Kiragu owa UNAIDS, Muhangi ne Dr. Andrew Kambugu akulira ekitongole kya Infectious Desease Institute e Makerere .

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ebikonde, ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitongozza kampeyini y’okulwanyisa akawuka ka siriimu nga kiyamba abazannyi okwekebeza.

Baatandise mwaka oguwedde okukebeza abazannyi bonna abeetaba mu buli mpaka, kuno kwe bagasse abatendesi, baddiifiri n’abakulembeze mu kibiina kya UBF.

Ku Mmande, pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi abadde n’abaddukanya ebitongole by’ebyobulamu eby’enjawulo okuli AIC, UNAIDS ne ICI n’alangirira kampeyini eyookubiri etandika ku Lwokutaano, n’okukebera abazannyi  n’abantu abalala ku kiraabu ya Sparks Bombers e Luzira.

 “Twegasse n’abazirakisa ab’ebyobulamu okulwanyisa mukenenya. Tugituumye ‘Box HIV out of Uganda’. Aba UNAIDS baagala obulwadde bwa siriimu okufuuka olugero mu nsi yonna omwaka gwa 2030 we gunaatuukira”, Muhangi bwe yategeezezza.

Dr. Karusa Kiragu, akulira UNAIDS mu Uganda, yagambye nti ebibiina 11 mu nsi yonna bye byefunyiridde okulwanyisa  obulwadde buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono