TOP

Mike Mutebi alidde n'era

By Silvano Kibuuka

Added 21st May 2019

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi, n'omuzannyi we Patrick Kaddu balidde engule za Pilsner

Mutebiwebweb 703x422

Mutebi ( ku kkono)n ne Moses Magero, omwogezi gwa KCCA FC

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi, alidde eky’obutendesi bw’omwezi omulundi ogwokusatu, aba Pilsner Lager bwe bamulonze ku bwa April.

Mutebi yawangula emipiira ena n’alemagana ebiri, sso nga Wasswa Bbosa (Tooro United), bwe babadde bavuganya, wadde mu mipiira gye gimu yawangulako ena,  yawangulwamu gumu n’okulemagana omulala.

Maneja w’akakiiko akaddukanya liigi aka Uganda Premier League (UPL), Paul Kabaikaramu, ye y’akwasizza Mutebi ekirabo kino.

N’omuteebi wa KCCA, Patrick Kaddu yannyuse n’engule y’okusinga banne okulengera akatimba mu April. Yateeba ggoolo nnya.

“Ebirabo bya Pilsner Lager biyambye okutumbula omutindo gw’omupiira. Abatendesi n’abasambi bateekamu obukodyo bungi mu kaweefube ono kubanga ssente ezeeyongera ku musaala bazaagala,” Mutebi bwe yagambye n’agattako nti Kaddu yeefubyeko nnyo okutuuka waali era ekirabo kimugwanidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza