TOP

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Mis1 703x422

AKAKIIKO akategeka empaka z’amaato g'Amasaza ga Buganda, kongedde ebirungo mu mpaka z'omwaka guno.

Mu bimu ku bipya ebiteereddwaamu mulimu; okwongera ku birabo ebinaaweebwa abawanguzi ab'enjawulo, n'okuteekawo enkola y’okugabira abawanguzi obubonero.

Ebirala ebipya mulimu; abavuzi okwetooloolanga ekizinga okusobola okulondako abawanguzi, okukendeeza ku muwendo gw’amaato aganaasimbulwa ku buli mutendera, n'ebirala. Ying. Ben Misagga, ssentebe w'akakiiko kano, akayitibwa 'Buganda Royal Boats REGATTA', yannyonnyodde nti ku luno empaka zigenda kuvugibwa ku mitendera ebiri; ogwa mmita 400 ne 100, n'oluvannyuma balondeko essaza erinaakuhhaanya obubonero obusinga, okufuuka abawanguzi.

"Enkola y'okwetooloola ekizinga tugiggyeewo. Ekirala, ku luno tugenda kukkiriza amaato mwenda okusimbula omulundi gumu, mu kifo kye 18, kimalewo omujjuzo ogubadde gugaviirako okukoonagana", Misagga bwe yalambuludde.

Mu nkyukakyuka endala mulimu, okuwa abawanguzi emidaali egya zaabu n’ente. Mu mpaka ez'emabega, abawanguzi babadde baweebwa nte yokka.

Abanaakwata ekyokubiri baakuweebwa embuzi bbiri n’emidaali gya feeza ate abookusatu babuukeyo n'embuzi emu n’emidaali gy’ekikomo. Empaka zino zaakubeerawo nga June 8, ku mwalo gwe Nabugabo, nga zakwetabwamu Amasaza gonna 18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi