TOP

Uganda esubiddwa eza Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Uganda esubiddwa eza Afrika

Yes3 703x422

TTIIMU y’eggwanga eya volleyball ey'abakazi, esubiddwa omukisa gw’okwetaba mu mizannyo gya Afrika egy'omwaka guno.

Uganda yakubiddwa Kenya obugoba 3-0, ku fayinolo. Uganda, abategesi b'empaka zino ezaamaze ennaku essatu nga ziyindira ku MTN Arena e Lugogo, yabadde erwana kufuna buwanguzi obusooka ku Kenya, mu nsisinkano mukaaga, mu myaka etaano.

Empaka zaabadde za kusunsulamu ttiimu emu, okuva mu Zone 5 omuli; Kenya, Ethiopia, Rwanda, Egypt ne Uganda okwesogga '2019 All Africa Games Championship' ezigenda okubaawo wakati wa August 19-31 e Morocco.

Okutuuka ku fayinolo, Uganda yamezze Ethiopia 3-0 ne Rwanda 3-1, ate Kenya n’ekuba Rwanda 3-0 ne Ethiopia 3-0. Omutendesi wa ttiimu ya Uganda, Tonny Lakony, yategeezezza nti omutindo abazannyi gwe baayolesezza guwa essuubi nti mu mpaka eziddako bagenda kukola bulungi.

Ez'okunsusulamu ez'abasajja zaakubaawo wakati wa June 3-10 mu kubuga Nairobi ekya Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi