TOP

Proline esuze bulindaala

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Proline esuze bulindaala

Ret2 703x422

ENKYA (Lwamukaa ga)
e Ma saka
Proline - Bright Stars, 9:00

SHAFIK Bisaso, atendeka Proline ayogeza maanyi nga ttiimu ye erindirira okuzannya fayinolo y'empaka za Stanbic Uganda Cup. Fayinolo yaakubaawo enkya ku Lwomukaaga nga Proline yaakuttunka ne Bright Stars ku kisaawe kya Masaka Recreational Grounds.

Mu kutendekebwa okwabadde ku kisaawe e Lugogo ku Lwokuna, Bisaso yategeezezza nti wadde Bright Stars nnungi nnyo mu kuzibira, balina obusobozi obugiwangula ne basitukira mu kikopo. “Nzikiririza mu kuzannya omupiira ogunyuma era gwe ng'enda okuzannya enkya.

Abawagizi basuubire fayinolo ennyuvu,” Bisaso bwe yakkaatirizza. Yagumiza abawagizi abeeraliikirivu nti abazannyi be bandibaamu obukoowu bw’okuzannya emipiira gy’ekigendererwa egy’okumukumu ng’agamba nti bali mu mbeera nnungi ebasobozesa okuzannya fayinolo eno awatali kwekwasa. Proline yawangudde Wakiso Giants ku kikopo kya Big League wiikendi ewedde.

Ye Fred Kajoba, atendeka Bright Stars agamba nti naye kino ekikopo akyagala kuba bakama be abakulembeddwa, Keisuka Honda baamukakasizza nti singa bakiwangula baakukiika mu mpaka za CAF awatali kusoomoozebwa kwa nsimbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze