TOP

Chelsea eswamye Lampard

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Chelsealampard 703x422

lampard

JUVENTUS yeetegese okudduka mu Chelsea ng’emalirizza okuzannya fayinolo ya Europa, eyogere n’omutendesi Maurizio Sarri. Omutendesi ono tamatizza bakama be mu Chelsea era kigambibwa nti nabo aba Chelsea baagala kumweggyako ng’empaka za Europa ziwedde.


Juventus, eterina mutendesi oluvannyuma lwa Max Allegri abadde agitendeka okugenda, esuuriza enkessi okulaba ng’etwala Sarri. Kyokka agayita mu nkuubo nago galaga nga Chelsea bw’etandise omuyiggo gw’omutendesi omulala.

Kigambibwa nti batunuulidde Frank Lampard, eyabazannyirako. Mu kiseera kino, Lampard atendeka Derby County, ezannyira mu Championship ey’e Bungereza kyokka nga nayo ku Mmande egenda kuzannya Aston Villa mu kasengejja akasembayo okulaba oba esobola okwesogga Premier.


Lampard agamba nti engeri gy’akyalina endagaano ne Derby, eby’okugivaamu okugenda mu ttiimu endala waakubyogerako nga bamaze omupiira gwa Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba