TOP

Ramos mukoowu mu Real

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Ramos4542051 703x422

ramos

SERGIO Ramos, azannyira Real Madrid yeesozze akafubo ne pulezienti wa ttiimu eno, Florentino Perez kyokka wadde ebyakavuddemu tebinnamanyika, kigambibwa nti Ramos alowooza ku kyakwabulira Real.


Kino kizzeewo oluvannyuma lwa pulezidenti Perez okwambalira Ramos nti y’omu ku baabakubya Ajax ng’ebawandula ku ‘quarter’ ya Champions League sizoni eyaakaggwa. Mu kiseera kino, Ramos tatudde ntende mu Real era yandiba ng’atandise okulowooza ku ky’okugyabulira.

Okusinziira ku lupapula lw’amawulire olwa AS mu Spain, ttiimu ez’enjawulo nazo zitandise okwagala okumugula era nga ku zino kuliko ManU ne Liverpool kyokka nga ne Juventus, eyagala kumugula emugatte ku Cristiano Ronaldo gwe yajja mu Real.


Ramos, ow'emyaka 33, yeegatte ku Real mu 2005 ng’ava mu Sevilla. Agizannyidde emipiira 606 ne ggoolo 84 mu mpaka ez’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze