TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abazannyi ba She Cranes bali mu kutendekebwa

Abazannyi ba She Cranes bali mu kutendekebwa

By Silvano Kibuuka

Added 27th May 2019

Abazannyi ba She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, bali mu kutendekebwa okwa kaasammeeme nga beetegekera World Cup

Sehwebwebweb 703x422

Lt. Col. Bricks Diamond ng'abangula abazannyi ba She Cranes

 

ABAZANNYI ba She Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka, wiikendi baagimazeeko nga bawejjawejja, oluvannyuma lw’okuteekebwa ku kutendekebwa okw’ekijaasi nga beetegekera World Cup.

Baabadde mu jjiimu ya ‘Fitness 4 Life’ e Lugogo, ng’eno omutendesi wa fiitineensi era omujaasi wa Amerika eyawummula, Lt. Col. Bricks Diamond, gye yababangulidde mu kutendekebwa okwa kaasammeeme.

Diamond  yategeezezza nti okutendeka kuno, kwe yayise ‘Military Boot Camp’, y’engeri yokka mwe bagenda okufunira fiitineensi, sipiidi, sitamina n’amaanyi okusobola okuvuganya n’okuwangula ttiimu z’Abazungu.

Abakulira ttiimu ya She Cranes okuli pulezidenti Susan Anek, maneja Jocelin Ucanda, abatendesi omukaaga,n’abalala bonna baabaddewo.

“Jiimu etukamudde naye tufunyemu nnyo. Abazungu batusinza maanyi era we tunaagendera nga tuli ku ffoomu, Rachel Nanyonga, omu ku bazannyi  bwe yategeezezza.

Abazannyi 18 be beetabye mu kutendekebwa kuno, nga 10 be bajja okusunsulwa beegattibweko kapiteeni Peace Proscovia ne Mary Nuba, abazannya pulo wabweru w’eggwanga.

Empaka zitandika nga July 12, mu kibuga Liverpool mu Bungereza. Uganda eri mu kibinja D n’abategesi aba Bungereza, Scotland ne Samoa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...