TOP

Bebalangidde obugwiira babakubidde okwabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2019

Bebalangidde obugwiira babakubidde okwabwe

Kat2 703x422

Bondeko FC 1-0 Black Street

ABAWAGIZI ba ttiimu ya Black Street baawoze oluvannyuma lwa bebaalangidde okuba abagwiira okubakuba ka goolo akaabalumye.

Ttiimu ya Bondeko nga eno y’abannansi ba Congo abali mu nkambi y’ababundabunda eyitibwa Bondeko e Masajja yabadde ekyazizza ttiimu ya Black Street ku Sunday ku kisaawa kya Masajja mu mpaka za Ssemuko Cup.

Nga omupiira tegunnatandika abawagizi ba Black Street baawezenga  bwebatasobola kukubwa bagwiira era bano tebaakomye okwo bawanyisigannyizza n’ebigambo ebisongovu eri abazannyi ba Congo nga omupiira gugenda mu maaso omwabadde okubalangira  okulya embwa n’ebirala.

Wabula bano kyabaweddeko aba Congo bwebaabalaze taaci okukkakkana nga babateebye goolo eyabalamye okuyunga bwegutyo neguggwa 1-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...