TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Empaka z'amasaza zongezeddwaayo lwa vvulugu

Empaka z'amasaza zongezeddwaayo lwa vvulugu

By Moses Kigongo

Added 29th May 2019

Empaka za masaza zakuggulwawo ku Lwomukaaga luno nga 1 June 2019 mu kisaawe kya saza grounds e Ssingo wakati wa banannyinimu (aba Ssingo) ne Ssese mu maaso ga kabaka.

Kakiikomasaza0 703x422

Ssejjengo owokubiri (ku dyo) ng'ayogera ku ntekateeka y'empaka za masaza .Abalala (okuva ku kono) be bakungu bolukiikookuli, Farida Bongoley, Francis Kitaka ne Francis Mugerwa (asembye ku dyo) ababade mu Masengere gye buvudeko.

Ssingo ne Ssese ku Lwomukaaga

Ebisale 10,000 ne 30,000

AKAKIIKO akaddukanya empaka za Masaza kongezaaayo emipiira gye mpaka zino ezibadde ezokuzannyiba ku Sande eno nga 2 June 2019 okusobozesa banabyamizannyo okulaba obulungi omupiira ogguggulawo empaka z’omwaka guno e Ssingo.

Empaka za masaza zakuggulwawo ku Lwomukaaga luno nga 1 June 2019 mu kisaawe kya saza grounds e Ssingo wakati wa banannyinimu (aba Ssingo) ne Ssese mu maaso ga kabaka.

Akakiiko kano akakulemberwa Sulaiman Ssejjengo(ssentebe wako ) okwongezaayo emipiira gino kiddiride abakungu ba ttiimu ze'mpaka zino  abenjawulo okutegeeza nga bwe bayinza obutasobola kwetaba ku mukolo gw'okuggulawo empaka z'omulundi guno ku Lwomukaaga nga Ssingo ettunka ne Ssese mu maaso ga kabaka e Mityana ku kisaawe kya saza Grounds olw'okwagala okutekateeka ttiimu zabwe.

Embeera eno yeewaliriza abakungu bano okwongerayo emipiira gino okubasobozesa okwetaba ku mukolo guno n'okubugiriza kabaka ng'aggulawo empaka zino mu butongole.

“Tusazeeewo okwongezaayo emipiira egibadde giteekedwa okuzannyibwa ku Sande eno amangu ddala ng’omupiira ogugenda okuggulawo empaka zino gwakamala okuzanyibwa ku Lwomukaaga akawungeezi  okusobozesa abantu ba kabaka okuv mu masaza agenjawulo okwetaba ku mukolo guno”,bwatyo eyaliko omubaka we Ntenjeru South era omu ku bawandiisi b'olukiiko oluddukanya empaka zino Patrick Nsanja bwe yategeezeza nga bakava  mu lukiiko lwa banamawulire olwabadde e Ssingo ku Lwokusatu emisana.

Mu gimu ku mipiira egyayongezedwaawo kuliko; owa Buvuma ng’ettunka ne Gomba okuva mu kibinja kya Masengere ku kisaawe ky'e Magyo.

Emipiira emiralala gya mu bibinja ebiralala okuli Butikiro omuli; ogwa  Bulemeezi gwe yabade ettunka ne Buddu ku kisaawe e kasaana wamu ne Kooki eyabade efafagana ne Mawokota. Ate mu kibinja kya Muganzirwaza mwabademu; omupiira gwa  Kyaggwe ng'ettunak ne Busujju ku kisaawe kya Bishops e Mukono wamu n’ogwa Kabula ne Butambala ku kisaawe kya  Bakijjulula.

Emiralala kwabadeko egy’ekibinja kya Bulange omuli; Buwekula ne Kyadono ogwabade ogw'okuzanyibwa e Kasenyi wamu ne Buluuli eyabade ettunka n e Busiro e Wabinnyonyi era nga gyonna ngakuzanyibwa ku wikendi eneddako wakati  w’ennaku z’omwezi  8 ne 9 mu June w'omwaka guno (2019).

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...